Ekiriwo kati;
Omumyuka womukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda, oweek Ahmed Lwasa, wamu ne Minisita w'Enkulaakulana y'Abantu, Oweek Cotilda Nakate Kikomeko, be bakiikiridde Obwakabaka ku matikkira ga Omukama wa Tooro aga 28, Oyo Nnyimba Kabamba Iguru IV, e Fort Portal.