Laadiyo y'Obujjajja ey'Obwakabaka bwa Buganda. Eno ye Page yaffe entongole. Twegatteko.

Joined June 2023
14,028 Photos and videos
Jangu owonnye ebisenge ebiyika ne ba building Trust nga bakulembeddwamu ssenkulu Mukyala Kulabako Efrance nganyonnyola
1
28
CBS FM UG retweeted
Replying to @MasazaCup_
@MasazaCup_ 2026 opener done 🙌 @cbsfm_ug
4
2
42
327
Munna National Unity Platform era omukuumi wa Hon Robert Kyagulanyi Ssentamu, Sseremba Ashiraf amanyiddwa nga Ashiraf Security alongooseddwa olwaleero era nadda bulungi engulu. Bamulongooserezza mu ddwaliro e Nairobi oluvannyuma lw'olukindo okumwabikako . Yeebazizza abamudduukiridde n'ategeeza nti akyetaaga obuyambi. #CBSFmUpdates
11
653
Hon Justice Moses Kawumi Kazibwe president @KagutaMuseveni gweyalonda okubeera omumyuka wa Ssaabalamuzi akubye ebirayiro mu state House atandike obuvunaanyizibwa obwamutikkibwa. #CBSFmUpdates
6
349
Abayizi ku Good Times Infant School - Kawaala bazimbibwamu obukulembeze obutuufu nebaweebwa n'omusingi gw'okulumirirwa bebakulembera. Omwana wo mutwale ku Good Times Infant School - Kawaala aganyulwe. 0393249503 oba 0393248796 okumanya ebisingawo.
8
283
Katikkiro @cpmayiga atongozza olukiiko olugenda okuteekateeka emikolo gy’okujjukira Amatikkira ga Kabaka ag’omulundi ogwa 33. Omukolo gwakutambulira ku mulamwa “Tubeere bavumu mu kukuuma obuwangwa bwaffe” Owek. Joseph Kawuki ye Ssentebe, amyukibwa Owek. Ssaalongo Robert Sserwanga, bammemba ku lukiiko ye; Owek. Noah Kiyimba, Owek. Israel Kazibwe Kitooke, Owe. Ahmed Magandaazi Matovu, Omuk. Josephine Nantege, Omw. David Ntege ne Capt. Christopher Lutwama. Ssaabasajja yasiimye omukolo gukwatirwe ku emu ku Kkanisa ya Watoto nga 31 July. #cbsat30 #CBSFmUpdates
1
25
483
Omulamuzi wa kkooti ku City Hall mu Kampala Edgar Karakire asindise abasajja 4 abagambibwa okutta Sydney Gongodyo, ku alimanda mu kkomera e Luzira okutuusa nga 23 omwezi guno. Bano tebakkiriziddwa kwogera kigambo kyonna kubanga omusango ogubasimeddwa munene guwulirwa mu kkooti enkulu yokka. #CBSFmUpdates
13
543
Ssenkulu wa @KCCAUG , @Buzeki_Sharifah alambudde ku ddwaliro lya KCCA e Kitebi n’eyeebaza abasawo olw’omulimu omulungi naddala okukwata obulungi abalwadde. Abasabye okwewala okujja ssente ku balwadde kubanga obuweereza mu malwaliro ga KCCA gonna bwabwereere. #CBSFmUpdates #Cbsat30
2
17
850
Ababadde ba minisita ba Gavumenti ez’ebitundu okuli Hon Raphael Magyezi ne Hon Victoria Businge Rusoke bawaddeyo office mu butongole eri abaabaddidde mu bigere; Hon @BalaamBarugahar ne Hon @JustineNameere . #Cbsat30 #CBSFmUpdates
1
11
321
Hon Matia Kasaija mu butongole awaddeyo office eri Hon Henry Musasizi ayamuddidde mu bigere mu kya minisita w'ebyensimbi n'okuteekerateekera eggwanga. #CBSFmUpdates
1
26
516
Nyumirwa Internet eweenyuka obuweewo ate nga teriiko kkomo ku nsimbi ensaamusaamu okuva mu @BCC_UG
3
104
Ab’ekitonge ekitambuza amasannyalaze ekya @uetcl bakoze ekikwekweto okukwata bonna abeesenza n’okukolera wansi wa line z’amasannyalaze ag’aamanyi. Ekikwekweto kino kikoleddwa mu bitundu by’e Buwaate n’e Nsasa, mu Kira Division mu district y’e Wakiso District. Bakutteyo abantu bataano. #CBSFmUpdates
3
1
15
1,065
Cbs Fm at 30! Hon. Ken Lukyamuzi The Man yeeyanzizza Ssaabasajja olwa Radio ye kubanga ezimbye bangi mu by’obufuzi n’obukulembeze nga naye mwomutwalidde. #cbsfmupdates
11
145
Aba @nemaug ne @KCCAUG bakoze ekikwekweto mu Division za Kampala okukoma n’okubowa ebyuma by’ebbaala n’ebifo ebirala ebikuba embeekuulo (okuwogganira waggulu). Baboye emizindaalo 153 okuva mu bifo 9. Balabudde n’abalala okwekomako okussaako amaloboozi obutasussa kipimo kyabaweebwa. Baagala nti bwobeera mu kifo awali embeekuulo esusse obakubireko ku 0800144444 #CBSFmUpdates #cbsat30
3
10
3,542
Abantu bana ku abo ekkumi abaakwatibwa ku by’okutta omuzannyi wa Rugby, Sydeny Gongodyo baleeteddwa mu Kkooti ya City Hall mu Kampala basomerwe emisango egyabaggulwako. #CBSFmUpdates
1
2
25
768
Cbs Fm at 30! Kazannyirizi Maulana Kasozi ow'engabi yeeyanzizza Ssaabasajja olwa Radio ye n'okuwa abantu emirimu nga tasosodde mu mawanga
1
2
23
842
Aba Marula Proteen Limited bakuleetedde ebijimusa ebigenda okuyamba ebirime byo okukula obulungi. @pewosatradefair
92
Kati kikyakwetaagisa kumala biseera mu nnyiriri olw'okusasula School fees, @CentenaryBank ekugamba nti kati osobola okukozesa CenteMobile ku ssimu yo n'osasula nga tovudde mu kifo. Nyiga *211# oba CenteMobile App #centenarybank
2
81