Obwakabaka bwa Buganda bukubiriza abantu abali ku ttaka lya Kabaka okuwandiisa ebibanja byabwe nga bakwatagana wamu n’abakulembeze n’ekitongole kya Ssaabasajja Kabaka eky’ettaka ki Buganda Land Board.
Obubaka buno buvudde wa Minisita w’Ettaka n’Ebizimbe mu Bwakabaka Oweek. David F.K Mpanga, akiikiridde Katikkiro leero mu kutikkula oluwalo olusobye mu bukadde 37 oluvudde mu bantu ba Kabaka mu masaza 2; Buvuma ne Bulemeezi.
Minisita Mpanga akikaatirizza nti Obwakabaka tewali muntu gwe bugoba ku ttaka wadde okutwala ettaka ly’omuntu yenna kyokka buli omu asaanidde okumanyibwa, okwekuuma n’okukuumibwa ku ttaka lya Ssaabasajja olwo bakakalabye emirimu gyabwe nga batuukirizza obuwandiike bwabwe ku ttaka lya Beene.
Mu bubaka bwe obulala eri abantu ba Kabaka bano abakiise Embuga naddala abavudde mu bizinga by'e Buvuma, abasabye okutega amakubo ag’enjawulo mwe basobola okuggya ensimbi ez’okwebezaawo nga
n’ensonga y’obuvubi bw'etereezebwa. Ono alabudde n'abantu ba Buganda ku ndwadde naddala eziva ku bujama.
“Munyikire okunaaba engalo zammwe buli kaseera, temusuulasuula bucupa, muyonje we muwangaalira ne we mukolera nga temulinze gavumenti kusooka kubadduukirira,” Minisita Mpanga.
Ye Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu Oweek Joseph Kawuki asibiridde abayizi abakiise Embuga entanda, abasabye baluubirire okubeera ab’omugaso eri eggwanga naddala nga beegomba n'okuyigira ku bantu ab’enjawulo abakulembera obulungi, oba abakola emirimu emirala emirungi olwo nabo nga bavudde mu masomero bongere okutwala eggwanga mu maaso.
Omwami w’essaza Buvuma, Mbuubi Oweek. Mboowa Michael Wamala aloopye embuga embeera y’abavubi gye bawangaaliramu ku bizinga ey’obwavu n’obugubi olw’ensonga nti baagobwa ku nnyanja, bwatyo asabye ab’obuyinza okuddiriza mu mbeera eno ekosezza ennyo abantu abava mu bitundu eby'ebizinga.
Oluwalo lunno lwetabiddwako Minisita w’Enkulakulaanya y’Abantu era avunanyizibwa ku woofiisi ya Maama Nnaabagereka Oweek. Choltildah Nakate Kikomeko, Omumyuka Asooka owa Mbuubi Mw. Henry Kiberu n’Omumyuka we Owookubiri Mw. Richard Ssemanda, bannabyabufuzi; Hon. Robert Ssekitoleko owa Bamunaanika, Ssentebe wa disitulikiti y’e Buvuma Mw. Matia Ochieng Matia, Omuyima w’abakulembeze w’abayizi Omulangira Ssansa Victor Nyabongo nabalala.
Abaleese oluwalo kubaddeko abavudde mu ssaza Buvuma; Mumyuka Bugaya, Ssaabaddu Busamizi,
Ssaabagabo Nairambi, Ssaabawaali Bwema, Bulemeezi; Ssaabawaali Kalagala, Abakulembeze b’Abayizi ku mutendera gwa pulayimale n’ogwa secondary awamu ne Imo Online Shopping Store nga bonna baleese omugatte
37,258,000/=